Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 367 listening Simba FM Live

Banna Busujju baleese Amakula ga Ssaabasajja embuga

June 16, 2020 · Mubiru Ali

Banna Busujju baleese Amakula ga Ssaabasajja embuga
Bano bakulembeddwamu Omwami w’essaza Mark Jjingo Kaberenge II nga awerekeddwako omubaka mu Palamenti ow’e Busujju David Lukyamuzi Kalwanga n’abantu abalala.
Bwabadde abatikkula Amakula gano, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwagga Mugumbule, agambye nti Obwakabaka bwala bantu ate n’okuleeta Amakula embuga kabonero akalaga nti Abaganda bassaamu Kabaka waabwe ekitiibwa era bwamwagala. Agambye nti okukiika embuga kikulu nnyo kubanga “Akiika Embuga Amanya Ensonga”. Abeebazizza okwekuuma nga balamu n’okugoberera abakugu byebabagamba okusobola okwetangira ekirwadde kya Covid19.
Omwami w’essaza Busujju, Mark Jjingo Kaberenge II agambye nti eky’okuleeta Amakula bakikola kubanga basaasira Kabaka olw’obuvunaanyizibwa bwalina obw’okulabirira abantube mu Lubiri ate nga embeera gyetulimu ya kusomooza. Kaberenge asabye Abaami b’amasaza baleete Amakula okusobola okubeezaawo Olubiri.