Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Bank of Uganda erabudde Bannayuganda ku Kkampuni ya Worldcoin

August 7, 2023 · Mubiru Ali
Bbanka Enkulu eya Uganda (Bank of Uganda) evuddeyo nerabula Bannayuganda abettanidde kkampuni ya World Coin ng’eno ya Crypto Currency ekutte Bannakibuga omubabiro okugyegendereza kuba terina lukusa lukola kutunda crypto currency nti era tebakolagana nayo.
Akulira ebyamawulire mu Bbanka Enkulu, Dr. Bazinzi Nantamba agamba nti Bannansi basaanye okwegendereza kkampuni eno. Ono agamba nti Worldcoin yayimiriziddwa okukola emirimu mu Ggwanga lya Kenya, nga kati newano mu Ggwanga ekutte akati naddala mu bayizi abali ku yunivasite.