Bangi bavuddeyo okuvuganya okudda mu kifo kya Abiriga

Enaku bbiri eziyise ekibuga ky’e Arua kibadde mu kayisanyo nga abaeimbyewo okudda mu kifo ky’omubaka wa Arua Municipality ekyalimu omugenzi Col. Ibrahim Abiriga.

Mu bano mulimu bannakibiina kya NRM abamaze okusisinkana Ssentebe w’ekibiina kyabwe omuli; Ms Nusura Tiperu, Mr Simon Ejua, Mr Jackson Atima, Dr Mubarak Khalifan, Mr Godfrey Aliga, Mr John Lematia, Mr Swadik Angupale ne Mr Ali Muhammad nga bano bakuvuganya mu kamyufu ka NRM akokubaawo nga 17 July.

Bano bakubye enkambi mu River Oli Division ekitundu mu Arua eddiini n’eggwanga gyebirina enkizo mukusalawo ani awangula. Ekitundu kino kirimu abavubuka n’abakyala bangi era nga bano basobola okukyusa abalonzi singa bakusiima bulungi.

Ye omuyimbi ow’erinnya mu Arua Kennedy Madira amanyiddwa nga JM Kennedy, yavudde mu kibiina kya NRM nadda mu DP oluvannyuma lw’okubibwa mu kalulu ka Terego East.

YoΒ Forum for Democratic Change (FDC) ereese Bruce Musema, nga ono yawangulwa Abiriga mu 2016 wadde nga bannakibiina abalala babadde Kassiano Wadri eyali omubaka wa Terego nga ono asazeewo kujja nga Independent. Abalala bannakibiina kya FDC abasazeewo okujja nga ba Independent kuliko Jaffar Alekua, Luke Ojandu ne Swaleh Buga.

Bano bakulonda nga 18 – August – 2018.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Obuyinza budde mu mikono gy’abantu