Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 354 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Banange ngezezzaako okulwanyisa obulyake n’enguzi – Pulezidenti Museveni

April 11, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeezezza nti akoze buli kyetaagisa okulwanyisa n’okumalawo obulyake n’obuli bw’enguzi mu Gavumenti ye, newankubadde mukyalimu abatonotono ababulankanya ensimbi z’Eggwanga.
Okwogera bino Pulezidenti abadde ayanukula Bannayuganda abavaayo ku bubaka bwe obwa Ppaasika nebategeeza nti talina ky’akoze kulwanyisa nguzi.
Pulezidenti agambye nti ataddewo ebitongole eby’enjawulo okuli woofiisi ya Kaliisoliiso, CID, ISO, wamu n’obukiiko bwa Palamenti obw’enjawulo nga bino byonna bivunanyizibwa ku kulwanyisa obulyake n’obukenuzi mu Ggwanga