Bamusse lwakubba ttooke n’akamyu

Pinterest LinkedIn Tumblr +

 Abatuuze kukyalo Sserubona mu gombolola y’e Kituntu mu district ey’e Mpigi batwalidde amateeka mungalo bwebakakanye kumusajja agambibwa okubba   akamyu n’enkota y’ettooke nebamukuba amayinja nebamutta.

Omusajja gwebasse ye Serwadda Emmanuel 30, ow’okukyalo Lukinga ekisangibwa mu gombolola y’e Kituntu mu district ey’e Mpigi.

Kigambibwa nti on akamyu ko n’enkota y’ettooke byeyabye by’abadde byamutuuze Lule Emmanuel nga naye wakukyalo kyekimu.

Sserwadda olwamukutte ne bamukuba nebamutta era nga kino abatuuze bakirabye ng’ekikolwa eky’obuwanguzi kuba ono abadde mubbi walulango kukyalo kino.

Share.

Leave A Reply