Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 135 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Bamusanze yafiira mu nnyumba e Kazo

September 8, 2018 · Mubiru Ali

Noah Katwera 37, abadde makanika wa mmotoka e Wandegeya asangiddwa ng’afiiridde mu nju nga n’omulambo gwe gutandise okuvunda.
Kiteeberezebwa nti omugenzi yaffa kikutuko, kuba tabadde na kirwadde kyonna. Omulambo guzuuliddwa abooluganda lw’omugenzi nga bayambibwako abatuuze.

Ono abadde abeera Kazo Central zooni II mu Divizoni y’e Nansana mu Wakiso.

Poliisi okuva e Kawempe ezze n’eggyawo omulambo okugutwala mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa ekyaviiriddeko omugenzi okufa.
Poliisi y’e Kawempe eguddewo fayiro okunoonyereza ku nfa y’omugenzi ku SD:REF:12/03/09/2018.