BAMPE OBUKUUMI, BATANDISE OKUNONDOOLA – HON. MUSINGUZI

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Hon. Yona Musinguzi Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM akiikirira Ntungamo Municipality olunaku olwaleero atutte mu Palamenti obujulizi obukaatiriza byeyayogera ku Hon. Dr. Musenero Masanza Monica Minisita wa Ssaayansi n’ensonga za Tekinologiya wamu n’obuyiiya nga agamba nti yawuwutanya ensimbi ezateekebwawo okuyamba ku Bannassaayansi mu Yuganda okukola eddagala erigema ekriwadde kya ssenyinga omukambwe lumiimamawuggwe owa COVID-19.
Hon. Musinguzi asabye aweebwe obukuumi n’okuyambibwa aleme kutiisibwatiisibwa muntu yenna kuba ku lwokuna lwa wiiki ewedde bweyamala okwanja ensonga eno agamba nti waliwo omuntu eyamulondoola.
Omumyuuka wa Sipiika Rt. Hon. Anitah Among asabye Minisita w’ensonga z’omunda mu Ggwanga okulaba nti omubaka ono aweebwa abakuumi.
Share.

Leave A Reply