Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 281 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Baminisita abekisiikirize ku ludda oluvuganya balayiziddwa

February 23, 2024 · Mubiru Ali

Baminisita abaggya abekisiikirize ku ludda oluvuganya Gavumenti abenjawulo olunaku olwaleero bakubye ebirayiro okutandika okuweereza mu butongole nga ku bano kwekuli n’Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende olunaku olwaleero alayiziddwa mu butongole nga Minisita owekisiikirize avunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu ng’omukolo guli ku Imperial Royale hotel mu Kampala.
Omukolo guno gwetabiddwako akulira oludda oluwabula LOP Hon. Joel Ssenyonyi, eyali LOP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba, Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda n’ababaka abalala okuva ku ludda Oluvuganya Gavumenti.