Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Baminisita 3 bakuvunaanibwa emisango ku mabaati g’e Karamoja

June 27, 2023 · Mubiru Ali

Ssaabawaabi wa Gavumenti avuddeyo nategeeza nga abakungu okuli; omumyuka wa Pulezidenti Rtd. Maj. Jesca Alupo, Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, omukubiriza wa Palamenti Annet Anita Among, Minisita Matia Kasaija ne ba Minisita abalala bwebutagenda kuvunaanibwa ku nsonga z’amabaati g’e Karamoja.

Ono akalambidde nti Minisita Agnes Nandutu, Minisita Mary Goretti Kitutu ne Minisita Amos Lugoloobi wamu n’abakungu abalala 3 okuva mu offiisi ya Ssaabaminisita bbo bagenda kuvunaanibwa mu Kkooti.