Breaking
News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo wano e Bukoto ku Simba.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 144 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Balam asazizaamu okusondera Chandiru ssente

September 18, 2019 · Mubiru Ali
#Wolokoso:
Barugahara Balaam Ateenyi avuddeyo nasazaamu okusondera Jackie Chandiru.ssente oluvannyuma lw’aboluganda lwe okuvaayo bebategeeza nti bagenda kumusasulira.
Balam avuddeyo neyebaa abantu bonna ababadde bavuddeyo okudduukirira Chandiru. Ab’oluganda lwe bagamba nti bafunye omuntu wa Family agenda okusasula ebisale by’eddwaliro. Bwatyo Balam alagidde Pastor Wilson Bugembe okuddiza abantu ssente zaabwe ze babadde basonze.
Pastor Bugembe agamba nti babadde bamusindikidde 550,000/= , ekibiina ky’abayimbi kyabadde kiwaddeyo 950,000/=. Jackie abadde abanjibwa 2,400,000/= ku Recovery Solutions Treatment & counseling Centre Zana gyabadde ajanjabirwa era zino Balam ne Bugembe bazisasudde.