Bakwatidde ow’amaggye ne Poliisi mu bubbi e Buziga

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Amyuka omwogezi w’amaggye Lt. Col. Deo Akiiki avuddeyo nayogera ku katambi akwatibwa nga aba ISO bakwata abasirikale b’amaggye wamu n’owa Poliisi e Buziga. Ono agamba nti bano baali bagezaako okubba omusajja munnansi wa Congo.
Ku bano kuliko abaliiko banamaggye ba UPDF okuli; ROV11540 Lt. Tobius Turyabaruganga nga yawumula nga mutuuze w’Entebe, RA209126 Lance Corporal Muzoora Benjamin eyadduka mu maggye, ASP Bushaka Godson OC Kikumbi Police Station Najjanankumbi ne Mutagi Gerlad nga mutuuze w’Entebe. Agamba nti amaggye gazudde AK47 n’amasasi nga emmundu eno ya Poliisi ya Uganda.

Share.

Leave A Reply