bakutte omuyizi w’e makerere lwabubbi

Poliisi y’omu Kikoni ekutte omuyizi w’e Makerere lwa kumenya n’ayingira mu nyumba y’omutuuze nabbamu ebintu ebibalirwamu obukadde 2 .
Rogers Mutoto 23 omuyizi we Makerere yunivasite y’akwatiddwa poliisi ye Makerere Kikoni B oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’aliko ennyumba y’omutuuze gye yamenye nayingira nabbamu ebintu ebibalirwamu obukadde 2 okuli essuuti kkeesi y’engoye, ekisowaani, paasi ne Go TV Decoder.
Mutoto okukwatibwa kyadiridde Innocent Tinyefunza okugenda ku poliisi n’amuggulako omusango ku fayilo namba 02/20/1/2019 ng’amulumiriza okuyingira mu mu kazigo ke n’amukuba oluvanyuma namubbako ebintu bye byonna

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
lwaki aba cosase nze tebampise ku bya Greenland