Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 244 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Bakutte basatu n’emmundu

November 9, 2018 · Mubiru Ali

Ab’ebyokwerinda e Masaka nga bayambibwako amaggye okuva mu nkambi y’e Kasijjagirwa bakutte musajja mukulu ow’emyaka 62 ne banne 2 n’emmundu kwosa n’amasasi agawerera ddala 6.
Bano bakukunuddwa ku kizinga Lujjwaba okumpi n’omwalo gw’e Ddimo mu Ggombolola y’e Kyesiiga oluvannyuma lw’abatuuze okutemya ku Maggye agavunaanyizibwa ku nvuba embi ku mwalo guno.
Kenneth Tashobya akulira ebikwekweto by’okulwanyisa envuba embi ku myalo egyetolodde Masaka agamba nti babadde bamaze wiiki 2 nga bafuna okwemulugunya mu batuuze nti waliwo abasajja abalina emmundu era eno babadde bagikozesa mu kutigomya abantu nga babanyagululako ebyaabwe.
Kino kyabawalirizza okukola ekikwekweto okukakana nga musajja mukulu George Kavuma 62, Ambrose Ssekiwala ne Joseph kayiwa 23 bakwatiddwa n’emmundu eno.
Bano bategeezezza nga bwewaliwo omuggaga George Wilson Kamba eyabaleeta okuyigga ensolo z’omutale ng’abasuubiza okubasasula.
Oluvanyuma batwaliddwa ku poliisi e masaka nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.