Bakutte abasirikale ba UPDF nga bagezaako okubba

Ekitongole ekikettera munda mu Ggwanga ekya Internal Security Organization (ISO) wamu ne Special Forces Command (SFC) bakutte abasirikale b’eggye lya UPDF kubigambibwa nti babadde bagezaako okubba obukadde 500 oku wooteeri ya Fang Fang mu Kampala ku luguudo lwa Ssezibwa e Nakasero.
Abakwatiddwa kuliko Corporal Majid Abbas (RA155747), Lance Corporal Ivan Asiimwe (RA 229038), Private Joshua Chandini (RA 232451) ne Ddereeva w’amaggye Ivan Opio.
Bano babadde batambulira mu motoka ekika kya CRV Honda nnamba UAN 193H nga ya bbulu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Obutaala tetujja kubujjako – Aba Boda Boda