Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 306 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Bakutte abadde agoba ebyapa ku ttaka lya Gavumenti e Mbarara

July 29, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda wamu ne Uganda Police Force bakutte Tumwiine Evarist lwakwekobaana kukola kyapa ku ttaka lya Gavumenti erisangibwa e Kyarwabuganda.
Ettaka lino liweza Hectares 14.62 nga kuliko eddwaliro erya Health Center III, ebidiba by’ente 2, LC 11 Administrative Units, ekisaawe n’ebirala.
Tumwiine yasangiddwa ne ddensite 2 eza Minisitule y’ebyettaka nga ziraga nti akola nga Senior Staff Surveyor owa Masaka ne Mbarara. Yasangiddwa n’empapula ezisaba okukyuusa obwannanyini ku ttaka, wamu n’ebyapa. Ono era yagezezzaako okuliisa abakozi b’Akakiiko enguzi bweyasindise mukwano gwe, Mungereza Edward eyakwatiddwa n’obukadde 5 bweyabadde ayagala okuwaayo bayimbule Tumwiine Evarist.