Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Bakutte ababbira mu Taxi

August 1, 2018 · Mubiru Ali

Ekitongole kya Poliisi ekya Flying Squad kitandise ebikwekweto okufuuza ababadde babira mu Taxi ku nguudo ez’enjawulo mu ggwanga. Ekikwekweto kyatandise enaku 3 eziyise era nga abantu babiri bebakakwatiddwa nga bano bakuliramu ekibinja ekibadde kibbira e Nansana, Kampala, Jinja, Mukono ne Lugazi.

Grace Ssebuliba ne James Agaba nga batuuze b’e Nansana bakwatiddwa ku monday ekitongole kya Flying Squad bwebabadde bakapangisa emotoka nnamba UBC 761A era nga abantu bana basobodde okutoloka. Kigambibwa nti bano balina ekibinja ekikulirwa Sanoni nga mutuuze w’e Nansana Kibulooka n’omumyuka we amanyiddwa nga Big Meat.

Omu kubakwatiddwa James Agaba agamba nti bapangisa Taxi ez’enjawulo nebatandika okutalaaga ebitundu eby’enjawulo nga banoonya bebanabba nga era Sanoni yakola omulimu guno. Agaba agamba nti bo bafuna wakati w’omutwalo gumu n’ebiri (10,000 – 20,000) olunaku ate Sanoni, Big Meat ne Musa abakola nga ba Conductor nebagabana ezisigalawo.