Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 455 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

bakubye owa boda boda ennyondo ne bamutta e matugga

January 28, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Matugga etandise okunoonyereza ku bazigu abaapangisizza owa bodaboda kyokka bwe baatuuse mu kkubo ne bamwefuulira ne bamutta oluvannyuma ne batwala ne pikipiki ye.Eyattiddwa yategeerekeseeko lya Isma ng’abadde avugira ku siteegi y’oku Mabanda e Matugga ng’abaamupangisizza yabasanze ku kyalo Ssaayi e Matugga ne bamulagira okubatwala e Matugga kyokka baabadde babulako katono okubatuusa we yabagambye, we baamutemulidde ne bamukuba ennyondo ku mutwe okukkakkana nga bamusse omulambo ne bagusuula mu nsiko ne babulawo.Gwalabiddwa abatuuze abaabadde batambula okumpi n’ensiko nga baasoose kulaba musaayi ne batemya ku bakulembeze era bwe beetegerezza kwe kulengera omulambo mu nsiko.Baayise poliisi okuva e Matugga n’egwekebejja oluvannyuma ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.Abatuuze nga bakulembeddwaamu Godfrey Sembatya baategeezezza ng’omugenzi bwe yaggyiddwaamu eriiso. Abamu baategeezezza nti abaakoze ettemu lino bandiba abasamize.Atwala poliisi y’e Matugga, Bosco Patrick Obotol yagambye nti batandise kaweefube ow’okuzuula abaakoze ettemu lino n’asaba abavuzi ba bodaboda okuvuga abantu n’obwegendereza.