Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 474 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Bajjo aganiiddwa okweyimirirwa

June 17, 2019 · Mubiru Ali
Andrew Mukasa aka Bajjo Eventz Clear Process eyakwatibwa ku lw’omukaaga aleeteddwa ku kitebe kya SIU e Kireka. Munnamateeka we Erias Lukwago abaddewo. Kigambibwa nti akunyiziddwa ku katambi ka vidiyo keyalimu nga akakasa Bannayuganda nga bwebasobola okusuula Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga 2021 tegunatuuka.
Aguddwako omusango gw’okukuma mu bantu omuliro wamu ng’ogwokukozesa obubi yintanenti era naganiibwa okweyimirirwa. Ne munne Abbey Musinguzi aka Abtex naye akwatiddwamu essaawa eziwerako e Kireka wabula oluvannyuma nateebwa.