Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 451 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Baguma asindikiddwa ku alimanda mu kkomera ly’e Kigo

August 30, 2016 · Mubiru Ali

Aaron Baguma eyali aduumira Police y’amasekkati ga Kampala avunaaniddwa emisango gy’obutemu mu kkooti ya Buganda Road era n’asindikibwa mu kkomera kya Gavumenti ery’ e Kigo .ย 

Mu ttuntu lya leero ssaawa nga munaana Baguma ng’awerekerwako munnamateeka we Abraham Mpumwire yeetutte mu kkooti ya Buganda Road n’agasimbagana n’omulamuzi wa kkooti ento Joan Aciro amusomedde emisanmgo esatu omuli ogw’obutemu, obubbi wamu n’okubuzaawo omuntu n’ekigendererwa eky’okumutta .

Baguma agaaniddwa okwennyonnyolako ku misango gino egya nnaggomola olw’ensonga nti giwulirwa kkooti nkulu yokka .

Wano munnamateeka we Mpumirwe waasabidde kkooti nti olw’ensonga z’ebyokwerinda, omuntu we asindikibwe ku alimanda mu kkomera lya Gavumenti e Kigo sso ssi mu Kkomera ly’e Luzira awali banne abalala omunaana bwebavunaanibwa .

Baguma waakukomezebwawo mu kkoti ย ku lwokuna lwa ssabbiiti eno ne banne bwebavunaanibwa .