Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 225 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Baduukiridde abaana abatalina mwasirizi e Nakaseke

May 13, 2023 · Mubiru Ali
Abaana abatalina mwasirizi abava mu maka agatesobola 550 mu Disitulikiti y’e Nakaseke baddukiriddwa n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo wamu nebyo ebikozesebwa mu masomero. Kit 550 zezagabiddwa nga buli kit erimu omufaliso, uniform, ebbaafu, amasuuka, akatimba k’ensiri, bulangiti, ensawo y’essomero, engatto, ebitabo, eccupa y’amazzi n’ebirala babyeyambise nga basoma okwanguyirwa obulamu bw’essomero nga bafuna n’otulo otumala bwebabeera bazzeeyo ewaka oluvannyuma lw’essomero.
Abaana bano baggyiddwa mu maka 550 okuva mu magombolola ag’enjawulo agasangibwa mu Nakaseke omuli Ssemuto, Kapeeka, Kiwoko, Kikamulo, Kito, Kinoni, Butalangu, Wakyato, Kasangombe ne Nakaseke.
Bino byonna, byawomeddwamu omutwe Esther Nakawooya nga ayambibwako mukwano gye okuva mu bitongole eby’obwannakyewa omuli; Inner Wheel Kampala ekitwalibwa aba Inner Wheel International wamu n’aba Sleeping Children Around the World (SCAW) okuva e Canada.