Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 449 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Bad Black omulimu gwebamuwadde agukoleddewo

September 28, 2021 · Mubiru Ali
Endowooza yange ku kya Shanitah Namuyimba aka Bad Black; “Abantu bangi bakyasobeddwa olwa Victoria University Kampala Uganda okulonda Bad Black atasoma kugenda wala okubeera Brand Ambassador. Naye twebuuze; omulimu gwa brand ambassador gweguliwa?
Bwokebera ku mutimbagano, Brand Ambassador ye muntu akozesebwa okutunda ekintu oba obuweereza eri abo bawangaliramu oba abamukiririzaamu n’ekigendererwa ekyokwongera okutunda bizineesi eyo gyebali.
Nazzikuno, Brand Ambassador yabeeranga muntu omututumufu, ow’erinnya nga asasulwa. Brand Ambassador asikiriza ba kkasitoma nga ayita mu kwogera gyebali okuyita ku ‘social media’ oba okubaweereza obubaka ku masimu, mu ’email’ oba okubatuukirira.
Abantu abatutumufu bangi okwetoloola ensi yonna bakozesebwa nga ba ‘Brand Ambassadors’ nga mu kutunda ebizigo nga oyinza nokwesanga tebabikozesa.
Ne Bad Black ayinza obutaba muyivu, naye alina abamugoberera ku ‘social media’ basobola okuguza ekirowoozo kyokusomera ku ssetendekero ono.
Jukira Victoria University yakatandika, era nga wandyesanga nga waliwo abantu abakagimanyira ku Bad Black. Ekyo kyekisinga obukulu, nga kati buvunaanyizibwa bwaba bakwanaganya Yunivasita n’omuntu wabulijjo okukozesa obulungi akadde kano.
Bad Black akoze omulimu gwe? Ye, kuba emikutu gyebyempuliziganya gimuwadde omukisa ogwo, era nsuubira akoze omulimu ogwamuweereddwa. Ekirala asobola bulungi okusikiriza abo ababadde batefiirayo kugenda kusoma ngabategeeza byayitamu oba oli awo olwobutasoma nnyo. Yunivasite kyerina okukola kwekumubuulira kiki kyalina okwogera.”