Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 341 listening Simba FM Live

Bad Black atabukidde Minisitule y’Ebyobulamu

June 14, 2020 · Mubiru Ali

Ministry of Health- Uganda evuddeyo neyanukula Shanitah Namuyimbwa aka Bad Black aka Chanitah Ptt ne Bannamateeka be abavuddeyo olunaku lw’eggulo nebategeeza nga bwebagenda okuwawabira Minisitule y’Ebyobulamu wamu ne banywanyi baayo okuli UNICEF Uganda ne World Health Organization Uganda.
Minisitule egamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyavaayo nasaba Bannayuganda n’abazira kisa abalala okuwaayo kyebasobola okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 era kkampuni ez’enjawulo zavaayo okuyamba n’ebintu eby’enjawulo. Kkampuni ya Precision Communications Consulting Limited yavaayo neyewaayo okukola obulango bwonna wabula nga erondoolwa Minisitule y’Ebyobulamu.
Kkampuni eno yatuukirira abantu ab’enjawulo omwali ne Bad Black nebakiriza nga tebakakiddwa okukola obulango buno era nga bonna bateeka omukono ku biwandiiko nti bakirizza okubukola.
Minisitule egamba nti esiima abantu bonna abavaayo nebakola obulango buno nti era Gavumenti yasasulira bulango buno kuzannya ku leediyo ne ku TV.