babiri balumiziddwa mu nairobi

Abantu babiri bebagambibwa okuba nga balumiziddwa mu kubwatuka okwabaddewo mu kibuga Nairobi ekiro kyajjo okuliraana ekirabo ky’emmere ekya Smothers Fast Food Restaurant  ku Tom Mboya Street kussaawa nga emu ey’ekiro. Philip Ndolo nga ono Regional Police Commander agamba nti omutembeeyi alina byatundira kukubo yaweereddwa akabokisi akatono akavugire mu kagaali akakozesebwa okutambulizaako ebintu mu Supermarket nga kamuweereddwa omusajja eyalabise nga munnansi wa Somalia.

Kigambibwa nti ono yefudde okubaako byeyerabidde namusabo agira amutwalirako nga bwabifuna. Kyabwatukidde okuliraana ekirabo ky’emmere wamu ne webalindira bbaasi. Ono eyasabiddwa okutwala ekitereke yalumiziddwa ku mukono ogwa ddyo ate omulala atunda amawulire eyabadde alinaanye wo naye yalumiziddwa okugulu okwa ddyo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Laurent Simons owa IQ eweza 145