Breaking
News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 374 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Babiri bakwatiddwa lwa kutunda biragalalagala.

May 16, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi enkya ya leero mu Kisenyi, e Kampala ekedde kukwata abakyala babiri Jackie Matovu ne Aisha Nakiwala ne liita 23 ez’amafuta g’ennyonyi. Kino kiddiridde ekiragiro ky’omumyuka wa IGP Brigadier Muzeeyi Sabiti eri Poliisi mu Kampala n’emiriraano okukwata abo bonna abatunda n’abakozesa ebiragalalagala.

Ekikwekweto kino kikulembeddwamu DPC wa Old Kampala Charles Nsaba wamu n’abasirikale abakugu mu kunoonyereza abagoberedde abakyala bano nebabakwata lubona nga baguza abaana bokunguudo amafuta g’ennyonyi agamanyiddwa  nga Benzene.

Abaana bano bagamba nti gabayamba okufuna amaanyi agabayamba okukola emirimu egy’enjawulo.

Nsaba agamba nti abaana bano batandikiriza mpola oluvannyuma n’ebenyigira nemubikolwa ebyobumenyi bw’amateeka nga okutta abantu.

Abakwatiddwa bakumiirwa ku poliisi ya Old Kampala.