Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Babiri bakubiddwa amasasi mu Arua

August 4, 2018 · Mubiru Ali

Abantu babiri bakubiddwa amasasi mu Arua nga kati bali mu ddwaliro ly’e Arua gyebafunira obujanjabi oluvannyuma lwakegugungo akabaluseewo ku mukolo gw’okutongoza ekibiina kya Awakening Youth from Poverty ekya Bryan White Foundation.

Olutalo lwatandise nga abavubuka abasoba mu 1000 ababadde bazze ku Boma grounds okutandika okusaba ssente ezabadde zibasuubiziddwa Bryan White. Bano babadde bakulembeddwa ekibinja ky’abavubuka abeyita ba “Fire Eaters”. Bwebayise omukulembeze wa Fire Eaters annyonyole kiki kyebagenda okukola okwekulakulanya ye nga awoza kimu nti tuwe ssente  nga ne banne bwebalumba podium.

Begatiddwako abavubuka abalala nebatandika okukola efujjo omwabadde n’okubba ebintu bya Silk Events Poliisi n’abasirikale ba UPDF ababadde mu kifo kino batandise okukuva amasasi mu bantu wamu ne Tear gas ekyayongedde okutanuula abantu nebagenda basalako oluguudo lwa Kampala – Arua.