Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 249 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Babiri bafiiridde mu kinnya mu kirombe kya zzaabu e Mubende

February 20, 2018 · Mubiru Ali

Waliwo abantu babiri bafiiridde mu kinnya ky'ekirombe omusimibwa zzaabu oluvannyuma lw'okubulwa empewo ey'okussa wansi mu kinnya kya ffuuti 600.

Enjega eno egudde mu kirombe ekimayiddwa nga Kayonza ekisangibwa mu ggombolola y'e Kitumbi mu Disitulikiti y'e Mubende era nga abafudde kuliko Kagaba Moses ow'emyaka 32 nga ono kigambibwa nti ye yasasoose okukka wansi mu kinnya kino asobole okuyiikuula eky'obugagga kya zzaabu kyokka n'abulwa empewo ey'okussa n'afiirayo.

Oluvannyuma banne kwekugenda okuyita abadduukirize nga bategedde nti munnaabwe afiiriddeyo wabula ate mu bazze okudduukirira mwemubadde Ssennyonjo Andrew ow'emyaka 28 nga ono naye olusseeyo wansi mu kinnya kino naye n'aziyira era naafiirayo.

Police y'e Mubende ezze n'eyambibwako abatuuze nga ekozesa ggenereeta n'eggyayo emirambo gyombi n'egitwala mu ddwaliro e Kassanda okwongera okwekebejjebwa .