Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 189 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Babiri bafiiridde mu kabenje e Kitigoma

August 4, 2023 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettundutundu lya Ssezibwa ategeezezza nga bwewaliwo akabenje akagudde ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala ku kyalo Kitigoma mu Disitulikiti y’e Buikwe Fuso Fighter nnamba UBB 716F bwetomereganye ne tuleela y’amafuta nnamba UAY 077A/UAY 928A M/Benz ku ssaawa kumineemu ezookumakya.
Kigambibwa nti ddereeva wa Fuso atanategeerekeka ngebadde eva Jinja ngedda Kampala avudde ku ludda lwe nadda ku ludda lw’emotoka ezidde e Jinja okukkakana ngayingiridde tuleela y’amafuta ebadde edda e Jinja.
Ddereeva wa Fuso ne turnman we bafiiriddewo era nga Poliisi egezaako okutema omutwe gwa Fuso okuggyamu emibiri gyabwe.
Ye Ddereeva wa tuleera ne turnman we baddusiddwa mu Ddwaliro e Jinja nga bali mu mbeera mbi okufuna obujanjabi.