Babakutte n’obuwunga obwalina okutwalibwa e Karamoja

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force e Mayuge egudde ku nsawo z’obuwunga eziwerera ddala 18 nga zikwekeeddwa omuntu gwetayatuukirizza mannya nga zino zezimu ku zaalina okutwalibwa e Karamoja okuduukirira abantu abafa enjala.
Emmere ekwatiddwa ebalirirwamu obukadde 7 nga kigambibwa nti yabbibwa mu sitoowa ya Gavumenti mu Disitulikiti y’e Moroto. Poliisi egamba nti ekikwekweto yakikoze oluvannyuma lwokutemezebwako omuntu alina omwoyo gweggwanga eyalabye nga batikkula obuwunga buno mu kifo kyeyekengedde.
Share.

Leave A Reply