Breaking
News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among avuddeyo ku bibadde bitambuzibwa nti alina akabaga kategese Nkitegeddeko nti waliwo abategese News: Chris Obore ne banne abalala bakiriziddwa okweyimirirwa ku nsimbi ezobuliwo obukadde 30, okuwaayo ekyapa kye ekyamakaage age Kiwanga wamu ne News: Omusuuga Charles Kamurasi Bajja wano nga batugamba nti ekiragiro kivudde wa CDF Muhoozi Kainerugaba.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 253 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Ba Tik-toker 2 basindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira ku biganbibwa nti bawayiriza Minisita Balaam Barugahara okwenyigira mu bikolwa

September 8, 2026 · Radio Simba

🎵 Ba Tik-toker 2 basindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira ku biganbibwa nti bawayiriza Minisita Balaam Barugahara okwenyigira mu bikolwa ebyokuvuga olupanka.

Bano kuliko; Ronald Mayega aka Munyarwanda Wa Bobi ne Swaibu Kakaire aka One-One, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Winnie Nakamya Jatiko nebegaana emisango gino.
Bano baguddwako emisango okuli: okusaasanya amawulire ag’obulimba wamu nokuddukanya omukutu gwa mawulire nga tebalina layisinsi okuva mu UCC wamu nokwekobaana okuzza omusango.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwami Grace Amy lutegeezezza nti bano nga bayita ku mukutu gwa Tik Tok ogumanyiddwa nga one.one.ug.media bavaayo nebategeeza nga Minisita Balaam bweyavuga Mayega olupanka oba abantu abantu abalala abakimutuusaako.
Bano baziddwayo ku alimanda okutuusa nga 28-September-2026 nga Uganda Police Force bwemaliriza okunoonyereza.
Omulamuzi era alagidde abakulira amakomera okunoonyereza ku nsonga yabano okutulugunyizibwa mu kkomera.
Bya Christina Nabatanzi

🌐 S

Radio Simba News