Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 884 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ba Ssentebe ba NRM bateeredde bannaabwe akaka

May 15, 2017 · Mubiru Ali
Ba Ssentebe ba NRM abeegattira mu mugendo gwa NRM Chairmen’s Forum, bagguddewo ekikwekweto mu Wakiso nebeerayirira okwanika omukulembeze yenna anaagezaako okutuulira ettutumu ly’ekibiina .
Ebigambo bino byogeddwa omwogezi wa Wakiso Chairmen’s Forum Kateregga Swaleh bwabadde ayogerako eri abakulembeze ba NRM mu Tawuni Kanso y’ e Namayumba kampeyini eni gyetongozeddwa.
Kateregga agamba nti ettutumu n’obuwagizi bya NRM bigemze biseebengerera olw’abakulembeze abatakola mirimu gyabwe bulungi olwo abantu ba wansi nebagandika okulaba ekibiina nga ekitakoze nebatuuka n’okulowoozesa abalala nti NRM eremereddwa so nga ate ekola emirimu gyayo  wabula abalala nebagituulira.