Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 311 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ba MP batandise okufuna essimu ezibatiisatiisa ku by’ekkomo ly’emyaka

July 10, 2017 · Mubiru Ali

Ababaka mu Palamenti bagamba nti batandise okufuna essimu ezibakubirwa abantu  nga babatiisatiisa nga bwebayinza okubateekera omuliro oba okubakuba emiggo eginaabaleka mu kkubiro singa kabatanda nebakyusa ennyingo ya Ssemateeka eye 102 akatundu akookubiri nga baggyawo ekkomo ery’emyaka ku mukulembeze w’eggwanga. 

Bano nno okutuuka ku bino kiddiridde olukalala lw’amannya gaabwe ssaako n’ennamba z’amasimu olutambulira ku mikutu gy’embikkulirwa kumanya nga lulagira abantu okukubira ababaka baabwe okubatangira okwetantala okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Abamu ku babaka abaafunye essimu ezibatiisatiisa mwemuli owa Disitulikiti y’e Budaka,  Pamela Kamugo Nasiyo, owa Ntenjeru ey’amambuka Amos Lugoloobi naye agamba nti bamukubira bangi nga bamusaba obuteetantala kuwagira kino.