Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 227 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ba kkansala bavudde mu mbeera lwa musaala, babanja obukadde 115

July 1, 2017 · Mubiru Ali

Ekibinja kya ba kkansala mu Munisipaali y’e Mubende kisitukiddemu ng’ eyatega ogw’ekyayi okugenda mu Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu okubanja ensimbi zaabwe obukadde 115 mu emitwalo ataano mu mukaaga (56) ezitalabikako.ย 

Grace Nantubiro akulembeddemu ekibinja kino ategeezezza nti webaviiriddeyo okugenda mu Kampala ku kitebe kya Minisitule, nga abakozi ba Gavumenti mu Munisipaali y’e Mubende balemeddwa okubannyonnyola ekibaviiriddeko obutabasasula nsimbi zaabwe zebabanja zebateekeddwa okufuna mu mateeka.

Nantubiro annyonnyodde nti buli mukiise ateekeddwa okufuna emitwalo abiri mu etaano(250.000) buli lutuula lwa kkanso era kati bamaze omwaka mulamba nga tebakomba wadde ku munwe gw’ennusu nti awamu buli kkansala abanja obukadde busatu (3.000.000) ku ba kkansala 36.