BA GGAAYI MULI MUTYA EYO

Hon. Janet Kataaha Museveni; “Baana bange abampita Maama olwokusaalawo kwammwe, nsazeewo okutwala ebigambo byammwe okweyita ba ggaayi. Baggaayi mmwe mbasindikira okwagala wiiki eno eya 19 -24 July. Amakya amalungu ba ggaayi, mwebale nnyo byemwaddamu ku bbaluwa yange gyenabawandiikira.
Mmwe abasiima engeri gyetuwanyisiganyaamu ebirowoozo nange mbebaza olwokutegeera obwetaavu obuliwo okuteekawo embeera ebasobozesa okulambikibwa mu mbeera yobulamu naddala mu kaseera kano akazibu mu bulamu. Okukuza abaana si kyangu, kyobateekamu nga abaana, kyebatwala nga ekirina okukolebwa.”

Leave a Reply