Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 279 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ba General ba UPDF bagudde mu bintu

July 13, 2022 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalagira Minisitule y’Ebyensimbi mu Ggwanga okunoonya mubunnambiro ensimbi obuwumbi 630 ziyambeko okukola ku kasiimo k’abasirikale ba UPDF 34 abagenda okuwummuzibwa wamu n’okwongeza abamaggye emisaala nga bwekyayisiddwa.
Mu Bannamaggye abagenda okuwummuzibwa kuliko, Gen. David Ssejusa, Gen. Elly Tumwine, Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso, Lt. Gen. Andrew Gutti n’abalala.
Pulezidenti Museveni agamba nti Bannamaggye bano basaanye okuwummula mu bitiibwa kuba befiiriza bingi nga balwana okununula Eggwanga nga newebakwatira obuyinza tebaalina kya bugagga kyonna nga obulamu bwabwe babumaze baweereza lwa mutima gwa Ggwanga.