Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 171 listening Simba FM Live

Ba Ddereeva b’emotoka ennene bagaaniddwa okuyingira e Rwanda

May 15, 2020 · Mubiru Ali

Emotoka ezisoba mu 50 ez’emigugu ba Ddereeva ne ba Ttaniboyi baazo bakyakonkomalidde ku nsalo y’e Mirama mu Disitulikiti y’e Ntungamo nga bakyagaaniddwa okuyingira mu Rwanda. Abamu ku ba Ddereeva bano bagamba nti bamaze wiiki wakati wa 2 ne 3 ku nsalo nga bagaaniddwa okuyingira e Rwanda. Umar Jamal, Ddeereva era Munnansi wa Kenya agamba nti abakulu ku nsalo ya Rwanda bataddewo obukwakulizo obuzibu obuzibu nga babagamba baweeyo emotoka zaabwe zivugibwa ba Ddeereva Bannansi ba Rwanda abali Nyagatare olwo bbo batuuse ebintu gyebiraga era balina kubeera mu kifo webakuumirwa okutuusa emotoka lwebazikkomyawo.
Ye Karim Bagaaga, agamba nti emotoka ezisinga zebawaddeyo zikoze obubenje ezimu neziggwayo olwokuba bavugira ku sipiidi empitirivu.
📸 Uganda Radio Network