Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 346 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Avunaanyizibwa ku byenkulaakulana attiddwa – Kiruhura

January 3, 2017 · Mubiru Ali

Isaac Atwine, omu ku bavunaanyizibwa ku byenkulaakulana mu Disitulikiti y’e Kiruhura atirimbuddwa abantu abatannaba kutegeerekeka.

Omulambo gwe gusangiddwa okumpi n’amaka ge ku kyalo Rwemirinzi Cell ekiri mu Kateete Ward mu Divizoni y’e Nyamitanga mu Municipaali y’e Mbarara.

Atwine okuttibwa yabadde azze kulya nnaku nkulu n’abomu makaage. Yavudde mu makaage akawungeezi ka ggyo ssaawa nga bbiri ez’ekiro okugenda okugula ebyokulya mu kabuga akaliraanyeewo, wabula teyakomyewo.

Omwogezi wa Police mu kitundu ekyo Ibin Ssenkumbi ategeezezza nti omulambo gwe guzuuliddwa nga guliko ebiwundu ku mutwe ne mu kifuba era nga Police yabakanye dda n’ogwokunoonyereza.