Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,467 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Avunaanibwa ogw’okutta owa Mobile Money ayolekedde okusingisibwa ogw’obutemu – Mukono

August 8, 2017 · Mubiru Ali

Abayambi ba kkooti enkulu e Mukono basabye omulamuzi Margret Mutonyi okusingisa omusajja Eric Kiwanuka Kibuuka ow’emyaka 35 omusango gw’obutemu ogumuvunaanibwa.

Kiwanuka nga yali kitunzi wa  Airtime kigambibwa nti yakkira munne bwebaali bakola omulimu gwegumu ssaako n’okukola ku Mobile Money,  Isaac Kato ow’emyaka 21 nga yali mutuuze mu ggobolola y’e Naman’amutta n’omulambo n’agusuula mu bikajjo.

Peter Lugwire ne Fred Ssemukwano bategeezezza nti okusinziira ku bujulizi obwaleetebwa mu kkooti bwongera okuluma omusajja ono. Wabula ye  Omulamuzi Mutonyi alaze nga 30 Muwakanya 2017 lw’agenda okuyisa ekibonerezo kino.