Omuserikale, James Ronnie Otyek abadde akuuma eddwaliro lya Gavumenti ery’e Lira asindikiddwa ku alimanda mu kkomera ly’e Lira, entabwe eva ku kutunda ddagala erikakkanya ku kawuka ka mukenenya (ARVs) ng’aliguza abalunzi b’embizzi.
Omulamuzi wa kkooti ento e Lira, Hillary Kiwanuka y’amusindise ku alimanda mu kkomera lya Gavumenti erya Lira Central Prison akulunguleyo ebbanga lya ssabbiiti bbiri era nga bweyaleeteddwa mu kkooti ku biragiro bya RDC – Robert Abak ku lwokusatu lwa ssabbiiti eno, omulamuzi teyamukkiriza kweyogerako olw’obudde.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Wabaddewo akasattiro mu batuuze mu Disitulikiti y’e Budaka abatuuze bwebatandise okutema emiti gyabwe egy’emivule olw’amawulire agabadde gatandise okuyitingana nti Gavumenti eteekateeka okweddiza emiti gino wonna mu ggwanga.
Ekibaddewo, ebigambo bibadde bitandise okuyitingana nti Gavumenti egenda kukuba ”Stamp” ku mivule n’emigavu era yeddize obwannannyini ku gyo era nga tegenda kukkiriza muntu yenna kugitema newankubadde giri mu kibanja kye.
Nabwekityo abantu kwekubaguka nebatandika okutema emikulu n’emito .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omubaka wa Munisipaali ye Masaka Mathias Mpuuga Nsamba yennyamidde embeera abavubuka ab’omulembe guno gye beeyisaamu, nategeezza nga bw’ali omwetegefu okuwagira ebbago ly’etteeka ku mwenge n’agamba nti abavubuka bangi boonoonese nga kino siwakukikkiriza.
Mpuuga agamba nti abavubuka abandikedde okubaako kyebeekolera, bakeera kunywa mwenge kyokka nga ekyennyamiza gulimu ebika eby’enjawulo nga kino kireetedde bangi n’okugwa edddalu.
Omubaka okwogera bino abadde ku mukolo ogumu nga Gavumenti eyita mu kitongole ekitakabanira okukuuma obutonde bw’ensi ku nnyanja Nalubaale ekya Lake Victoria Environment Project (LAVEMP)etongoza okuzimba kaabuyonjo ku myalo egiri mu disitulikiti y’e Kalungu n’ebifo ebikungaanya abantu abangi.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omukozi w’awaka (House Maid) Jemima Nasifah eyeeyita Tumukunde Zainabu, nga nzaalwa y’e Rwanda yeyasimbiddwa mu kkooti ento eyooku City Hall mu Kampala ku maaso g’omulamuzi Esther Nahirya n’avunaanibwa omusango gw’okusiiga omwana wa myaka ebiri obulwaddde bw’akawuka ka mukenenya.
Oluuyi oluwaabi nga lukulemberwamu Jackie Kyasimire lwategeezezza kkooti nti Jemima Nasifa omukomba bokisi ono, wakati w’ennaku z’omwezi 30 Ssebaaseka ne 3 Kasambula omwaka guno mu bitundu by’e Kiwaatule mu zzooni y’e Kazinga mu Kampala, ng’akimanyi bulungi nti alina akawuka ka mukenenya, yasala ku ku mukono gwe ogwa ddyo, n’afuna omusaayi bwatyo n’agusiiga ku kiwundu omwana ono kyeyalina ku nnyindo.
Kyasimire yategeezezza kkooti nti Jamima yakwatibwa lubona mu kikolwa nnyina w’omwana ono oluvannyuma lw’okuwulira nga omwana we akaaba. Wabula Jamima yeegaanye era n’asindikibwa ku alimanda e Luzira.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Abantu abawerako abalina emisango mu kkooti e Mubende olwaleero basiibye bakonkomadde ebweru wa kkooti, emisango gyabwe obutawulirwa olw’akeediimo k’abawaabi ba Gavumenti akatandise olwaleero.
Abawaabi ba Gavumenti baagaana okukola olunaku olwaleero olw’ensimbi zibafuna entono nebagamba nti bo bawulira abalala nga batyagiwalira mu nsimbi Kyokka bo nebafunako wadde ennusu.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omubaka mu Palamenti akiikirira abaana bonna mu ggwanga Anna Adeke ajeemedde ekiragiro kya Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga bweyalagidde ababaka okwewala okwogera ku nsonga ezikwatagana n’ebbago ery’etteeka ly’ekkomo ku myaka egy’obukulu omuntu gyakomako okukulembera eggwanga 75.
Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Kadaga yagambye nti abantu emitima gibeewanikira bwereere kubanga ebbago eryo terinnakubwako kimunye mu Palamenti n’olwekyo abantu baalibadde ku bintu ebirala.
Wabula okwawukana ku ebyo, Adeke akubye olukungaana lwa bannamawulire ku Palamenti ng’ayogera ku nsonga yeemu n’agamba nti ye akyogerako ng’omukulembeze w’abavubuka .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Police mu Disitulikiti y’e Amuru ekonkomadde n’abaana mwenda abagisuuliddwa omukazi Grace Akwero ow’emyaka 35 omutuuze ku kyalo Pagora ekisangibwa mu muluka gw’e Pupwonya ng’abaana bano yabasudde ku Police Post ye Atiak ku lwomukaaga lwa ssabbiiti ewedde.
Kigambibwa nti Akwero yasooka kuleeta musango ku Police ng’awaabira bba Santo Acaye okwesuulirayo ogwa nnaggamba nga takyalabirira baana nabwekityo kwekusalawo aleete abaana ku Police kubanga kitaabwe yabasuulawo nga n’ekyokulya baakifuuwa mu mmindi.
Patrick Jimmy Okema, ayogerera Police mu bitundu by’e Aswa River akakasizza bino era n’agamba nti abaana abasatu bamaze okutwalibwa ekitongole ekiyamba abaana mu kitundu ekyo.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omubaka wa Pulezidenti mu ssaza ly’e Buweeekula , Maj. Joseph Kakooza akunze banna Buweekula n’abatu b’e Mubende okuvaayo okutandika okulaga obukambwe ku bannannyini ttaka abagufudde omugano okubagobaganya ku ttaka e Mubende.
Kakooza agamba nti singa abatuuze tebavaayo kutandika kulwanyisa bagagga ababagoba ku ttaka, abantu batandise okufuuka abagwira wano mu nsi yaabwe.
Ono okwogera bino abadde asisinkanye abatuuze abasukka mu 4000 abagobwa ku ttaka okuva ku byalo nga abasisinkanye ku kyalo Nakaladde ekisangibwa mu muluka gw’e Kabulamuliro ne Kasambya mu ggombolola y’e Madudu mu Disitulikiti Mubende
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine omukulembeze wa Ghetto, mu ttuntu lya leero alayiziddwa nga omubaka wa Kyaddondo ey’obuvanjuba .
Kyagulanyi Ssentamu alayiziddwa Clerk wa Palamenti Jane Kibirige, n’alayira okukuuma ssemateeka w’eggwanga n’okussa ekitiibwa mu mateeka agafuga Palamenti.
Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ayanirizza Kyagulanyi mu Palamenti ey’ekkumi n’amuwa kkopi ya ssemateeka w’eggwanga ne kkopi y’amateeka agafuga Palamenti.