Police e Ntebe mu Disitulikiti y’e Wakiso egombyemu obwala abantu bataano ku byekuusa ku kutemulwa kw’omuyizi James Lutaaya abadde asoma obusawo mu ddwaliro ly’e Mengo (Mengo Nursing school ) mu Kampala.
Lutaaya ow’emyaka 24 yattiddwa n’omulambo gwe negusuulibwa mu mwala okuliraana amaka g’obwa Pulezidenti e Ntebe era omwogezi wa Police mu ggwanga, Emiliana Kayima agamba nti baabakanye dda n’ogwokunoonyereza wabula omulambo gwa Lutaaya gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.Kitalo !!
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omusibe ategeerekese nga Ogona Mudafuru ow’emyaka 48 afiiridde mu kabuyonjo y’ekkomera ly’e Buyikwe bw’abadde agirongoosa n’egwamu.
Police ennyuludde omulambo gw’omusajja ono mu kabuyonjo obuzibu ebutadde ku baazimba kabuyonjo eno nti baagizinba bubi nnyo ate nga ekozesebwa abasibe njolo.
Ayogerera Police mu bitundu bya Sszibwa Hellen Butoto akakasizza bino .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Yafeesi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti yeetaga obuwumbi bw’ensimbi za Yuganda butaano okuyimirizaawo abakozi abaggya.
Micheal Chibita bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’amateeka ategeezezza nti newankubadde nga enteekateeka y’okwongera ku bakozi mu kitongole kino yayisibwa, naye tewali ssente zaateekeddwawo kulabika nti abakozi bano bayingizibwa mu kitongole era nga mu kiseera kino ku Disitulikiti 130 eziri mu ggwanga, bakolera mu 89 zokka ekikaluubiridde bannansi okufuna obwenkanya mu misango.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Abayizi bataano beebaakakubwa amasannyalaze mu bitundu bya Bugisu mu bbanga lya ssabbiiti emu eyise era nga bano amasannyalaze gazze gabakubira mu bifo ebitali bimu.
Eyaakasembayo okukubwa amasannyalaze gaamukuba ku Lwakutaano lwa ssabbiiti ewedde era nga ono yali wa mu Namunsi Central mu Mbale nga ye Ashim Ssemakula nga abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti waya y’amasannyalaze yawanuse ku muti n’ekuba omwana ono n’afiirawo.
Kinajjukirwa nti ku bbalaza ya wiiki ewedde nga 09 abayizi babiri okuva mu ssomero lya Makuyu Pulayimale School baakubwa amasannyalaze nebafiirawo.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omuserikale wa Police James Ogwal yeetugidde mu kaduukulu ka Police yooku Mawanda road mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Ogwal abadde Ofiisa wa Police y’e Kabalagala nga yakwatibwa gyebuvuddeko nga avunaanibwa gwa kubba Ppikipiki era nga okwetuga yakozesezza muguwa gwa kyangwe nga omulambo gwe guzuuliddwa nkya ya leero nga z’embuyaga ezikaza engoye.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Nga wayise kati emyaka esatu bukya omulamuzi Joan Kagezi attibwa, ekitongole ekiwaabi ky’emisango mu ggwanga (Directorate of Public Prosecution) kigamba nti ne gyebuli kati tewali muntu n’omu yali agombeddwamu bwala ku butemu buno.
Bw’abadde ayogerako mu lukungana lwa Bannamawulire ku Joan Kagezi Memorial Lecture ( okumujjukira) ku Media Center mu Kampala, Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Chibita agambye nti kikwasa ennaku nnyingi okuba nti Kagezi yattibwa mu ngeri y’ekikangabwa bw’etyo kyokka nga ne gyebuli kati tewali ky’amaanyi kyali kikoleddwa ku kuzuula abaamutta.
Wabula ategeezezza nti ekitongole kikolera wamu ne Police okulaba nga abatta Joan bazuulibwa.
Chibita ategeezezza bannamawulire nti abatemu abatta Kagezi baakozesa obukugu obw’ekika ekyawaggulu ekikifudde ekizibu okwanguyirwa okubafuna. So Memorial Lecture ya Kagezi yaakubaayo nkya ku Lwokutaano ku Hotel Africana.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Gavumenti eriko amazzi ga nayikondo g’ewadde amagombolola ataano (5) mu Disitulikiti y’e Mityana nga omu ku kaweefube w’okulaba nga ebbula ly’amazzi ligenda likendeezebwa mu Disitulikiti y’e Mityana.
Bw’abadde akwasa abatuuze boomu magombolola okuli Maanyi Butayunja, Kakindu, Bulera, Kalangaalo nayikondo zino, omubaka wa Pulezidenti atuula e Mityana Captain Yahaha Kakooza agambye nti ekisinze okuleeta ebbula ly’amazzi okubuutikira ebitundu by’eggwanga ebitali bimu be bantu okukkira emiti n’entobazzi okubisaanyaawo nga kino kiviiriddeko ebitundu okukala.
Ono agasseeko nti waliwo abantu abamu nga eby’okukuuma obutonde bw’ensi babitwala mu ngeri ya lusaago nga n’abamu kyenkana omwenge gubasingira amazzi.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Police e Mubende ekutte abantu 5 abateeberezebwa okubaako ne kyebamanyi ku kubba omwana ow’emyaka ebiri.
Okoyo Martin aduumira Police e Mubende ategeezezza nti abakwate bano 5 amannya g’atayatuukirizza olw’okutya okutaataaganya okunoonyereza kwa Police babadde bakubira bazadde b’omwana ono amasimu nga babasaba ensimbi obukadde butaano okusobola okubaddiza omwana waabwe gwebaabadde baawambye.
Okoyo annyonnyodde nti omwana ono bamusanze asuuliddwa mu ppaaka ya Takisi e Kasambya Mubende webamugye nebamutwalira bazadde be.
Omwana ow’emyaka ebiri ono eyabadde abbiddwa ye Kabugo Evelyn muwala wa Kambasu Moses abatuuze ku kyalo Kkuminamukaaga mu ggombolola y’e Kigando mu Disitulikiti Mubende .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Sipiika wa Disitulikiti y’e Mukono Emmanuel Mbonye mwennyamivu ku ngeri abantu gye battibwamu nga bawambibwa.
Mbonye agamba nti ebintu bino eby’okuwamba abantu babijja mu mawanga ge Bulaaya nga bayita mu kulaba Ffirimu z’ayogeddeko nti zikoze kinene okwonoona ensi Yuganda.
Ono okwogera bino asinzidde ku muwala ow’emyaka 23 Nakabuto Felsita eyawambibwa ku Lwokutaano abasajja abataategeerekeka abaali batambulira mu mmotoka nga baamuggya okuliraana awaka waabwe e Kyabazala ekisangibwa mu ggombolola y’e Ntunda mu Disitulikiti
Agamba nti ebikolwa ebyo bivudde ku bwavu obukudde ejjembe mu bantu era n’asaba Gavumenti eteeke nnyo essira ku kulaba nti bannansi bayingiza ssente basobole okutumbula embeera zaabwe.
Mbonye asinzidde mu mboozi ey’akafubo ne Radio Simba n’asaba abantu bonna okwekuuma bave mu bino ebya Gavumenti etuyambe nti kubanga olaba bawamba mwana wamuserikale ate leero ggwe ataliiko bukuumi.