Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 140 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Attiddwa n’omulambo negusuulibwako ebya Wongo – Lwengo

December 12, 2016 · Mubiru Ali

Waliwo omuntu omulala asangiddwa nga atemuddwa mu Disitulikiti y’e Lwengo nga atemuliddwa mu kifo kyekimu awaatemulirwa omusawo w’ekinnansi ennaku ntono nnyo eziyise.

Ono eyatemuddwa ye John Kachakuso ow’emyaka 40 era nga abadde mutuuze ku kyalo Kakundu -Kiwangala ekisangibwa mu Ggombolola y’e Kiseka mu Disitulikiti y’e Lwengo.

Margret Kayondo omusasi waffe eyo atugambye nti omulambo gwa Kachakuso gusangiddwako ebya wongo omubadde amatu g’emmwanyi, amatooke amookye nga gusibiddwako n’ebikoola .

Wabula ye Ssentebe w’ekyalo kino Kakundu, Idi Muganga alumiriza nti obutemu buno buvudde ku basawo b’ekinnansi abeeyongedde obungi.