Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 155 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Attiddwa mu nnimiro y’ekigo – MitalaMaria

January 22, 2017 · Mubiru Ali

Abasiisita mu kigo ky’e Mitala Maria ย mu Disitulikiti y’e Mpigi baguddemu ekyekango bebagudde ku mulambo gw’omusajja eyattiddwa n’asuulibwa mu nnimiro y’ekigo.

Abasiisita babadde bagenze mu nnimiro yaabwe nebagwa ku mulambo guno era nga kiteeberezebwa nti nti omuntu yattiddwa buttibwa olw’ensiitaano ebadde mu kifo wegubadde.

Omusasi wa Luboggola Simba, Joseph Balikuddembe agamba nti obutemu buno buggyidde mu kiseera nga baakamala okufuna ekikangabwa ekya bannamukadde ababiri abaasangibwa mu nnyumba nga battiddwa. Kitalo