Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 281 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Atemyetemye omwana wa muganda we namuteeka mu sseppiti amufumbe

January 15, 2024 · Mubiru Ali
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Ntungamo etandise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku kyalo Kyanyanzira, mu Muluka gw’e Nyanga, mu Gombolola y’e Rubare. Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Basiima Stephen 63, agamba nti omwana ow’emyaka 11 Ariho Patrick omuyizi ku ssomero lya Kiyombero Primary School e Kyanyanzira nga 14/01/2024 ku ssaawa nga ttaano ezookumakya yatemeddwatemeddwa Nelson Akandwanaho ebitundu ebimu nebiteeka mu ssefuyiya okubifumba.
Kigambibwa nti omuntu ategeerekeseeko erya Alex yatemezeddwako nti Nelson yabadde mu nnyumba yebadde mu nnyumba ye nga ateemateema Ariho, kati omugenzi ngono abadde ayita Nelson Uncle.
Alex yakuŋŋaanyizza abantu ku kyalo nebagenda ku nnyumba ya Nelson, era bwebalingizza mu luggi bakizudde nti yabadde atematema bigere bya Ariho, bagezezzaako okumuyita wabula nabagoba nga bwabatiisatiisa wabula basobodde okumukwata era nabategeeza nti ebitundu ebimu yabadde abisudde mu kabuyonjo ye ate ebirala mu ya Jajja w’omugenzi ebalinaanye.
Poliisi ekizudde nti Nelson yalinako ekizibu ku bwongo, era nga yakozesezza akakisa Bajajja b’omugenzi bwebabadde bamulese awaka yekka nga bagenze okusaba.
Ono yasangiddwa ne bitundu ebimu nga amaze okubitematema nga; okugulu, omukono n’obugere n’engalo nga abitadde mu ssefuriya agenda kubifumba.