Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 239 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Atemyetemye nnyina lwa kugaana kumusalira ku kibanja

January 17, 2018 · Mubiru Ali

Police e Buyikwe etandise omuyiggo gwa musajja ategeerekeseeko erya Godfrey wa myaka 23 akkidde nnyina enkya ya leero n'amutemaatema n'amutta oluvannyuma lw'okugaana ky'abadde ayagala eky'okumusalirako ekitundu ekikye  ku kibanja kya Famire ekya yiika ebbiri , ye ekitundu ekikye akitunde. 

Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Kalagala ekisangibwa mu ggombolola y'e Kawuku mu Disitulikiti y'e Buyikwe 

Omugenzi ye Nalongo Robinah ow'emyaka 75 era nga mutabani we okumutta bweyamusabye ekitundu ekikye n'amutegeeza nti asooke ayite baganda be bonna balyoke basalemu Godfrey ky'atakkirizza era bw'atyo n'amusanjaga