Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 284 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Atemyetemye mukyala we lwa kumusanga namusajja mulala – Iganga

November 22, 2017 · Mubiru Ali

Entiisa ebuutikidde abatuuze booku kyalo Nabitende Banada ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Iganga omusajja bwatemyetemye mukyala we nga amulanga okubaako omusajja omulala gw'ayagala.

Okusinziira ku batuuze Luboggola simba beeyogeddeko nabo, batutegeezezza nti Costa Isabirye ow'emyaka 38 yasanze mukyala we n'omusajja omulala  Mukasa Fred mu kagga akaawula ekyalo Nabitende ku Naibiri , wabula Mukasa n'assaako kakokola tondeka nnyuma  awo Isabirye n'akkira mukyala we n'amutemaatema okutuusa okumutta.

Police y'e Iganga oluvannyuma ezze n'eggyawo omulambo n'egutwala mu ddwaliro ly'e Naluvule basobole okugwekebejja.