Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 198 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Atemyetemye mukaziwe lwa bukadde 2 bamusse – Kayunga

January 29, 2017 · Mubiru Ali

Abatuuze ku kyalo Bukeeka mu Disitulikiti y’e Kayunga bakedde ku muyiggo gwa musajja ategeerekeseeko nga Isma era olumuguddeko nebamutemaatema ebiso okukakkana nga bamulesezza emmere nga bamulanga kukkira mukyalawe namutemaatema okubula okumutta. Omusasi waffe Kato Vincent e Kayunga atutegeezezza nti abafumbo bano bafunye obutakkaanya ku nsimbi obukadde bubiri omu ku baana b’omukazi beyazaaala nga tannafuna Isa okumuweereza ssente zino ate Isa mu kifo ky’okusaba Isa amugabanyizeeko, n’asalawo okuzitwala zonna era bwatyo n’atemaatema omukazi okubula okumutta.

Omulambo gw’omusajja Police y’e Kayunga ezze n’egutwala mu ggwanika ly ‘ eddwaliro ly’e Kayunga ate omukazi nebamuddusa mu ddwaliro e Jinja bataase obulamu bwe.

Wabula Simba geetegedde gagamba nti omusajja ono Isa abadde yawasibwa buwasibwa omukazi era nga yava Jinja.