Atemyetemye mukyala we, ettamiiro libizadde – Bukomansimbi

Police e Bukomansimbi eriko omusajja Kalyango Patrick ow’emyaka 42 gwegombyemu obwala lwa kukkira mukyalawe n’amutemaatema katono amuserengese e Kalannamo

Omwogezi wa Police mu kitundi kino Lameka  Kigozi  annyonnyodde nti omusajja ono Kalyango yakomyewo ng’atamidde bw’atyo n’agamba mukazi we nti awunya amazzi g’omusajja ag’ebitundu eby’ekyama era n’asikayo ejjambiya n’atandika okutemaatema.

Abatuuze bagenze okujja okutaasa embeera omukazi bamusanze mu kitaba kya musaayi era nebamuddusa mu ddalwilre ly’e Masaka nga aliko kikuba mukono, Wabula ye omusaja ono kalibutemu Police emutaddeko obunnyogoga agenda kuvunaanibwa gwa kugezaako kutta muntu

Bino bibadde ku kyalo Butenga B. mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ssaabalabirizi alabudde ku bagenda ku kyeyo mu Buwalabu