Breaking
News: Naye nga kyosubwa okimanyi! E Kavumba kyakutte dda. News: Ensi ya Neyimbira 2026 tuli eno mu Las Vegas e Kavumba kitokota baaba. News: Neyimbira Byange Finals 2026
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 186 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Atemyeko omwana wa mukazi we omutwe – Wobulenzi

July 12, 2016 · Mubiru Ali

Police e Luwero eri ku muyiggo gwa musajja eyatemyeko omwana wa mukyalawe –  omujjanannyina omutwe ate n’akyukira ne mukyalawe n’amusanjaga ebiso ebimuviiriddeko okufa enkya ya leero nga yaakatuusibwa mu ddwaliro .

Entiisa eno egudde ku kyalo Nakadingidi mu tawuni kanso ye Wobulenzi .

Omusajja ono nga ategeerekeseeko lya Nicholas kigambibwa nti yakozesezza ekiso n’atemako omwana ono myaka 8 omutwe bw’atyo n’akyukira ne nnyina gw’ateebereza okuka nga abadde ayagala omusajja omulala .