Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 424 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Atemyeko muyizi munne omutwe lwa kumugaana

February 10, 2017 · Mubiru Ali

Police e Jinja egombyemu obwala omuyizi wa S. 3 agambibwa okusalako muyizi munne omuwala bwebasoma mu ssomero lyerimu obulago olw’okumukwana n’amugaana .

 Ayub Kamongoli ow’emyaka 18 nga muyizi mu ssomero lya St. Monica Secondary School erisangibwa e Mpumudde y’agambibwa okutemako Resty Kirabo ow’emyaka 17 omutwe era nga omulambo gwa Kirabo gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi ku lwokubiri lwa ssabbiiti eno.

Aduumira Police mu Disitulikiti y’e Jinja, Jamada Wandera agamba nti Kamongoli yagombeddwamu obwala oluvannyuma lw’oluvuuvuumo okuva mu batuuze abaamuwulira ng’atiisatiisa omuwala ate olunaku olwaddirira n’asangibwa nga zembuyaga ezikaza engoye.  Kitalo !