Breaking
News: Uganda buli kimu kifu, owola otya omuntu obukadde 50 ngalina okukuwa amagoba obukadde 250! Mususse! News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 395 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Atalina kyamaanyi kyogenda kukola Kampala totawaana kujja enkya – SP Kauma

April 22, 2022 · Mubiru Ali
Aduumira Uganda Police Force y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano Kauma Rogers Nsereko avuddeyo nategeeza nga enguudo ezimu mu Kampala bwezigenda okuggalwa okusobozesa ebikujjuko eby’enjawulo ebyokukuza amazaalibwa ga mutabani w’omukulembeze w’eggwanga ag’emyaka 48 Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba okugenda mu maaso ku kisaawe e Kololo ne ku Cricket Oval olunaku lw’enkya.
Ebikujjuko byakutandika n’emisinde mubunabyalo ku ssaawa emu eyokumakya nga era Gen. Muhoozi yagenda okugisimbula. Kauma agamba nti emotoka zonna ezinasangibwa ku nguudo zakusikibwa zitwalibwe ku Poliisi eri okumpi nga nnanyini motoka yalina okusasulira ebisale bya kasiringi.
Ayongeddeko nti bwoba tolina kyamaanyi nnyo kyogenda kukola mu Kampala kyandibadde kirungi nosigala awaka okwewala okutaataganyizibwa ngovuga emotoka nti wabula bwekiba tekyewarika osobola okutambuza ebigere oba okuvuga akaggaali. Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okuseembeza abagenyi abebitiibwa mu maka g’obwa Pulezidenti Entebe nga Pulezidenti Paul Kagame asuubirwa okuba omu ku bbo.