Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,054 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Asse mutabaniwe lwa ssente za Ssekukkulu – Kannungu

December 24, 2017 · Mubiru Ali

Police e Kannungu eriko omusajja wa myaka 54 Gaston Bataringaya nga mutuuze ku kyalo Rwencuuncu mu muluka gw'e Mishyenyi ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Kannungu gwegombyemu obwala lwakutta mutabani we Doroviko Muhoozi myaka 25  lwakumubeeba ssente za Ssekukkulu . 

Aduumira Police mu Disitulikiti y'e Kannungu Tugumenawe agamba nti okulwanagana wakati wa Taata n'omutabani kwatandise ssaawa ssatu ez'ekiro ky'olwokutaano  Muhoozi bweyakomyewo okuva mu Kampala n'atandika okubeeba kitaawe ssente ezigula engoye za Ssekukkulu wamu n'ezomwenge , mu kulwanagana kuno Muhoozi n'abaka akambe n'akafumita kitaawe mu mugongo wabula oluvannyuma kitaawe n'amusinza amaanyi n'akamuggyako era mu kwerwanako n'afumita mutabani  mu lubuto wabula n'afa nga addusibwa mu ddwaliro ly'e Kisiizi e Rukungiri.